BUGANDA ENSI MIREMBE

First edition

$35.00

  • Okubikkula ekitabo kino gwe mulyango gw’okumanya mu butuufu, ensibuko y’ensi Buganda ey’eddembe n’emirembe okuviira ddala ku kuwangibwa kw’ensi Buganda.

  • Bingi biwuliddwa era bingi bisomeddwa ne bisomesebwa ab’emirembe egiyise, kyokka bingi byasigala nga bikunukkidde.

  • Ekitabo kirambika Obwassooka okuva ku lubereberye lwa Ttonda n’obugabane bwa Kisitu Buganda ng’omuntu era ng’ensi okutuuka ku bika. Buganda Ensi Mirembe kye kitabo ekiwumbawumba ebimu ku ebyo ebyakisibwa emirembe, era nga weewaawo kwe kukwekula ebyama; olw’okusobozesa emirembe egiddako obutatambulira mu bubuze olw’ebyafaayo ebimaze ebyeya n’ebyeya nga bimogolwako busammambiro, ebindi nga byogerwa kifuulannenge.

  • Omumanyi eyamanyisibwa abamanyi mu bwannamwelula, ow’okumanyisa n’okuggulira ebyafaayo ebituufu, kubanga bingi bikyakwekulwa. Omuwandiisi Walusimbi Kasolo atukoze obulungi nga Buganda, okutuuka mu mbiri, amasiro, embuga ensozi n’emitendera gyazo; n’anoonyereza era n’agabana naffe ebyo tutandifunyeko mukisa kubimanya.

  • Ekitabo kino kituukidde ku mulembe nga ensi eyaayaana okufuna ebituufu okuva mu biyiiyirize. Obwakatonda tubulabira mu bika na Mawanga.

  • Bw’okuba ekika n’eggwanga lyo amabega, oba oseeseetuse okuva Omutonzi w’akubalira.

  • Beera mumanyi amanyisiddwa abamanyi; anti “okumanya ge maanyi.”

COPYRIGHT BUGANDA MADDIRO © 2024+

CONTACT US

Email: bugandamaddiro@gmail.com
Tel: +256778030282

buganda maddiro
buganda maddiro